Ezekiel 48:10-11

10 aOmugabo ogwo ogwawuddwako guliba gwa bakabona era guliba mayilo munaana obuwanvu ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’obugazi mayilo ssatu ku luuyi olw’Obukiikakkono, n’obugazi mayilo ssatu ku luuyi olw’ebugwanjuba n’obuwanvu mayilo munaana ku luuyi olw’Obukiikaddyo. Mu makkati g’ekitundu ekyo we waliba ekifo ky’Awatukuvu wa Mukama. 11 bEkifo ekyo kiriba kya bakabona abaatukuzibwa bazzukulu ba Zadooki, abaamperezanga n’obwesigwa ne batawaba ng’abaana ba Isirayiri bwe baakola, era ng’Abaleevi abalala bwe banvaako.
Copyright information for LugEEEE